Ezra 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaggya ne mu kiggwa ky'e Babiloni ebintu ebya zaabu ne ffeeza Nebukadunezzari bye yali aggye mu Kiggwa e Yeruzaalemu n'abireeta mu kiggwa ky'e Babiloni. Kabaka Kuuro yabikwasa omusajja gwe bayita Sesubazzari, gwe yali awadde obwessaza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yanyaga mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n’abitwala mu ssabo ly’e Babulooni, Kabaka Kuulo n’abiggyayo. Kabaka Kuulo n’abikwasa omusajja erinnya lye Sesubazaali, gwe yalonda okuba owessaza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadduneeza bye yaggya mu Yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n'abitwala mu ssabo ery'e Babbulooni, ebyo Kuulo kabaka n'abiggya mu ssabo ery'e Babbulooni, n'abikwasa omuntu erinnya lye Sesubazzali gwe yali afudde owessaza;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza, Nebukadunezzari bye yali aggye mu Ssinzizo e Abasiriya n'abitwala mu ssabo e Babilooni, kabaka Kuuro yabiggyayo mu ssabo e Babilooni n'abikwasa Sesubazzari, gwe yalonda okuba omufuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n'abireeta mu yeekaalu ey'e Babulooni, ebyo Kuulo kabaka n’abiggya mu yeekaalu ey'e Babulooni, ne babiwa omuntu erinnya lye Sesubazzali gwe yali afudde owessaza;