Ezra 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Ebintu bino bitwale, genda obiteeke mu Kiggwa ekiri mu Yeruzaalemu, n'Ekiggwa kya Katonda kizimbibwe mu kifo kyakyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’amugamba nti, ‘Twala ebintu ebyo, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, era olabe ng’ennyumba ya Katonda edda mu kifo kyayo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amugamba nti, “Twala ebintu bino, ogende obiteeke mu Yeekaalu eri mu Yerusaalemi, ennyumba ya Katonda ezimbibwa mu kifo mwe yali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amugamba nti: “Twala ebintu bino obiteeke mu Ssinzizo e Abasiriya, era olabe ng'Essinzizo liddamu okuzimbibwa mu kifo we lyali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amugamba nti Twala ebintu bino, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, ennyumba ya Katonda ezimbibwe mu kifo kyayo.