Ezra 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Sesubazzari ono n'ajja n'azimba omusingi gw'Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu; n'okuva olwo n'okutuusa kati kizimbibwa, tekinnaba kuggwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Sesubazaali oyo n’ajja n’azimba omusingi gw’ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era okuva mu kiseera ekyo n’okutuusa kaakano omulimu gukyagenda mu maaso, tegunnagwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo Sesubazzali oyo n'ajja n'assaawo emisingi gy'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi; kale okuva ku biro ebyo n'okutuusa kaakati ekyazimbibwa era tenaggwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sesubazzari n'ajja, n'azimba omusingi gw'Essinzizo mu Abasiriya. Okuva olwo n'okutuusa kati terinnaggwa, likyazimbibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sesubazzali oyo n'ajja n'assaawo emisingi gy'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: kale okuva ku biro ebyo na buli kati nga bagizimba, era naye tennaba kuggwa.