Ezra 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno oba kabaka alaba nga kirungi, bakebere mu nnyumba y'enkuluze ya kabaka eri mu Babiloni, alabe oba Kuuro kabaka yali ayisizza ekirangiriro okuzimba Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu, olwo kabaka atubuulire ky'asazeewo ku kigambo kino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kabaka bw’aba ng’asiimye, wabeewo okunoonyereza mu bitabo mu ggwanika lya kabaka eyo e Babulooni obanga ddala Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi. N’oluvannyuma kabaka atutumire okututegeeza ky’asazeewo ku nsonga eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno oba nga kabaka asiima banoonye mu ggwanika ly'ebiwandiiko bya kabaka eriri eyo e Babbulooni, balabe oba nga Kuulo kabaka teyateeka teeka ery'okuddamu okuzimba ennyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, era tusaba kabaka atutumire atutegeeze bw'anaasiima mu kigambo kino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“N'olwekyo bw'oba ng'okisiima, ayi Ssaabasajja, lagira banoonye mu biwandiiko eby'obwakabaka e Babilooni, balabe oba nga Kabaka Kuuro yayisa ekiragiro ekikkiriza okuddamu okuzimba Essinzizo e Abasiriya. Era ayi Ssaabasajja tukusaba otutegeeze ky'oyagala ku nsonga eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno oba nga kabaka asiima banoonye mu ggwanika lya kabaka eriri eyo e Babulooni, oba nga bwe biri bwe bityo, ng'etteeka lyateekebwa erya Kuulo kabaka okuzimba ennyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, kabaka atutumire atutegeeze bw'anaasiima mu kigambo kino.