Ezra 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli ne Yeswa mutabani wa Yozadaki ne batandika okuzimba Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu; abalanzi ba Katonda baali nabo nga babayamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bagolokoka ne bagenda mu maaso n’omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era ne bannabbi ba Katonda nga babayambako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne basituka ne batandika okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi; era wamu nabo waaliwo ne bannabbi ba Katonda abalala nga babayambako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yeswa mutabani wa Yehozadaaki, ne basituka ne batandika okuzimba Essinzizo mu Abasiriya. Ne bayambibwako abalanzi ba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n'agolokoka ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne batanula okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: era wamu nabo waaliwo bannabbi ba Katonda nga babayamba.