Ezra 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Tattenayi eyali owessaza Emitala w'Omugga n'ajja gye bali ne Setari-Bozenayi ne bannaabwe ne bababuuza nti: “Ani yabakkiriza okuzimba ekiggwa kino n'okumaliriza omusekese guno?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kyekimu Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bagenda gye bali ne bababuuza nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzaawo bbugwe oyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo ne wajja gye bali Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne babagamba nti, “Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi ne bannaabwe abalala, ne bajja e Abasiriya, ne bababuuza nti: “Ani yabawa obuyinza okuzimba ennyumba eno n'okugimaliriza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo ne wajja gye bali Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne babagamba bwe batyo nti Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?