Ezra 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bababuuza era nti: “Amannya galuwa ag'abasajja abazimba ekizimbe kino?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era ne bababuuza n’amannya g’abasajja abaakolanga ku kizimbe ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne bababuuza nti, “Abasajja abakola ennyumba eno amannya gaabwe be b'ani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne bababuuza nti: “Abasajja abazimbisa ennyumba eno be baani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne tubagamba bwe tutyo nti Abasajja abakola ennyumba eno amannya gaabwe b'ani?