Ezra 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno ye bbaluwa owessaza Tattenayi mu kitundu ky'Emitala w'Omugga, Setari-Bozenayi ne banne abaami b'Emitala w'Omugga, gye baaweereza ewa kabaka Dariyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kopi ey’ebbaluwa Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe abakungu ab’emitala w’omugga Fulaati gye baaweereza Kabaka Daliyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eno ye bbaluwa Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne banne, Abafalusaki, abaali emitala w'omugga, gye baaweereza Daliyo kabaka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eno y'ebbaluwa Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bannaabwe abalala bwe baafuganga ekitundu ekiri emitala w'omugga, gye baaweereza Kabaka Dariyo:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne banne, Abafalusaki, abaali emitala w'omugga, gye baaweereza Daliyo kabaka: