Ezra 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssebo kabaka, tukutegeeza nti twagenda mu ssaza lya Yuda, eri Ekiggwa kya Katonda Omukulu. Bakizimba n'amayinja amanene, ne mu bisenge bakookeddemu emiti. Omulimu gukolebwa na bwegendereza era gulamidde abaguluŋŋamya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitugwanidde okumanyisa kabaka nga bwe twagenze mu ssaza lya Yuda ku yeekaalu ya Katonda omukulu. Abantu bagizimba n’amayinja amanene era bateeka n’embaawo mu bbugwe, era n’omulimu gukolebwa n’obunyiikivu n’okugenda gugenda mu maaso olw’okufuba kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Kabaka tukutegeeza nti twagenda mu ssaza lya Yuda mu nnyumba ya Katonda omukulu ne tusanga nga ezimbibwa n'amayinja amanene, era emiti ngagiteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gukolebwa nga gweyongera n'okunyikira mu mikono gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Ssaabasajja tukutegeeza nti twagenda mu kitundu ky'e Buyudaaya mu Ssinzizo lya Katonda, ne tusanga nga balizimbisa amayinja amanene, nga bateeka n'embaawo mu bisenge. Omulimu gukolebwa n'amaanyi era gugenda mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka ategeere nga twajja mu ssaza lya Yuda mu nnyumba ya Katonda omukulu ezimbibwa n'amayinja amanene, era emiti giteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gugenda nga gweyongera n'okunyiikira mu mikono gyabwe.