Ezra 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twabuuza abakadde abo, ne tubagamba nti: ‘Ani yabakkiriza okuzimba ekiggwa kino n'okumaliriza omusekese guno?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twabuuza abakulu nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzzaawo bbugwe oyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne tubuuza abakadde abo nti, ‘Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo ne tubuuza abakulembeze b'abantu nti: ‘Ani yabawa obuyinza okuzimba ennyumba eno, n'okugimaliriza?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne tubuuza abakadde abo ne tubagamba bwe tutyo nti Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?