Ezra 6:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka Dariyo n'ayisa ekirangiriro, ne banoonya mu tterekero ly'ebiwandiiko mu nkuluze eyali mu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Daliyo n’awa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Daliyo kabaka n'alyoka ateeka etteeka, n'alagira ne banoonya mu nnyumba eterekerwamu ebiwandiiko ebitongole e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka Dariyo n'alagira banoonye mu Babilooniya mu mawanika omuterekebwa ebiwandiiko ebitongole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Daliyo kabaka n'alyoka ateeka etteeka, ne banoonya nu nnyumba eterekerwamu ebitabo by'obugagga gye byaterekerwa mu Babulooni.