Ezra 6:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
basobole okuweereza Katonda w'eggulu ebitambiro ebisanyusa, era kabaka n'abaana be babasabire babe balamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
basobole okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda w’eggulu, era basabire kabaka ne batabani be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
balyoke bawengayo ssaddaaka ez'evvumbe eddungi eri Katonda w'eggulu, era basabire obulamu bwa kabaka n'obwa batabani be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
balyoke bawengayo eri Katonda w'eggulu ebitambiro by'asiima, bansabirenga nze kabaka n'Ab'ezzadde lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bawengayo ssaddaaka ez'evvumbe eddungi eri Katonda w'eggulu, era basabire obulamu bwa kabaka n'obwa batabani be.