Ezra 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nnangiridde nti omuntu yenna aliba akyusizza ekiragiro kino, mu nnyumba ye musowolwangamu omuti n'agukomererwako, ate ennyumba ye eyabizibwanga n'efuuka ffumbiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era n’awanikibwa ku mpagi eyo. N’ennyumba ye erifuulibwa olubungo olw’ekikolwa ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nteese etteeka buli anaawaanyisanga ekigambo kino, omuti guggibwenga mu nnyumba ye, era asitulibwenga asibibwenga okwo; n'ennyumba ye efuulibwenga olubungo olw'ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndagira nti: omuntu yenna anaakyusaako etteeka lino, baggye omuti mu nnyumba ye, bagusimbe awanikibweko, era ennyumba ye efuulibwe ekifo awasuulibwa obusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nteese etteeka buli anaawaanyisanga ekigambo kino, omuti guggibwenga mu nnyumba ye, era asitulibwenga asibibwenga okwo; n'ennyumba ye efuulibwenga olubungo olw'ekyo: