Ezra 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tattenayi owessaza Emitala w'Omugga, Setari-Bozenayi ne bannaabwe ne batuukiriza n'obwegendereza ekirangiriro kya kabaka Dariyo kye yali ayisizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’ekiragiro kabaka Daliyo kye yaweereza, Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne bakola bye baalagibwa n’obunyiikivu bwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannaabwe, ne bakolera ddala n'obwegendereza bwonna nga kabaka Daliyo bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bannaabwe, ne bakolera ddala nga kabaka bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannaabwe, kubanga Daliyo antumye, ne bakola bwe batyo n'okunyiikira kwonna.