Ezra 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo abakadde mu Bayudaaya ogw'okuzimba ne gubalamira, nga bwe bawagirwa n'okulanga kwa Aggayi omulanzi ne Zakariya mutabani wa Yiddo. Baamaliriza okuzimba, nga Katonda wa Yisirayeli bwe yali alagidde, n'ebirangiriro bya Kuuro, Dariyo ne Arutakesasuta bakabaka ba Buperusi bwe byali bigambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakadde b'Abayudaaya ne bazimba ne balaba omukisa olw'ebigambo bya Katonda ebya yogerwa Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo. Ne bazimba ne bagimala ng'ekiragiro bwe kyali ekya Katonda wa Isiraeri, era n'ekiragiro kya Kuulo ne Daliyo ne Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze b'Abayudaaya ne bazimba Essinzizo, nga bayambibwako abalanzi Haggayi ne Zekariya mutabani wa Yiddo. Ne bamaliriza Essinzizo nga Katonda wa Yisirayeli bwe yalagira, era nga n'ekiragiro kya Kuuro ne Dariyo ne Arutazeruzeesi kabaka w'e Perusiya bwe kyali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakadde b'Abayudaaya ne bazimba ne balaba omukisa olw'okulagula kwa Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo. Ne bazimba ne bagimala ng'ekiragiro bwe kyali ekya Katonda wa Isiraeri, era n'ekiragiro kya Kuulo ne Daliyo ne Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi.