Ezra 6:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiggwa kya Katonda kyamalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adari, mu mwaka ogwomunaana ogw'obufuzi bwa kabaka Dariyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo yeekaalu eyo n’emalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw’omwezi Adali, mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennyumba eno n'emalirwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adali, ogw'omu mwaka ogw'omukaaga ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo eryo lyaggwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adaari, mu mwaka ogw'omukaaga ogw'obufuzi bwa Kabaka Dariyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennyumba eno n'emalirwa ku lunaku olw'okusatu olw'omwezi Adali, ogw'omu mwaka ogw'omukaaga ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka.