Ezra 6:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okutukuza Ekiggwa kya Katonda ekyo, baaleeta ente ennume kikumi, endiga ennume ebikumi bibiri, obuliga obulume ebikumi bina, n'embuzi ennume kkumi na bbiri, okwenkana n'ebika bya Yisirayeli, olw'ekitambiro olw'ekibi ku lwa Yisirayeli yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, n’endiga ennume ebikumi bibiri, n’endiga ennume ento ebikumi bina, ate n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ng’omuwendo bwe gwali ogw’ebika bya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baweerayo mu kutukuza ennyumba eno eya Katonda ente kikumi (100), endiga ennume bibiri (200), abaana n'endiga ento bina (400). Ne bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi ekya Isiraeri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri (12) ng'omuwendo bwe gwali ogw'ebika bya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kutukuza Essinzizo ne batambira ente ennume kikumi, n'endiga ennume ebikumi bibiri, n'endiga ento ebikumi bina, ne batambira n'embuzi ennume kkumi na bbiri, embuzi emu ku lwa buli kika kya Yisirayeli, nga kye kiweebwayo olw'ebibi by'Abayisirayeli bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baweerayo mu kutukuza ennyumba eno eya Katonda ente kikumi, endiga ennume ebikumi bibiri, abaana b'endiga ebikumi bina; n'okuba ekiweebwayo olw'ekibi ekya Isiraeri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri ng'omuwendo bwe gwali ogw'ebika bya Isiraeri.