Ezra 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ne babassa mu biti byabwe n'Abaleevi mu bisanja byabwe mu kuweereza Omukama mu Yeruzaalemu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe n’Abaleevi mu biti byabwe olw’okuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bassaawo bakabona nga bwe baagerekebwa, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, baweerezenga Katonda mu Yeekaalu e Yerusaalemi; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne bassaawo bakabona nga bwe baagerekebwa, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, baweerezenga mu Ssinzizo mu Abasiriya, nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo kya Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bateeka bakabona nga bwe baagerekwa; n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, olw'okuweereza Katonda ali e Yerusaalemi; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.