Ezra 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basanga omuzingo mu kigo ky'e Ekubatana, mu ssaza ly'e Mediya; kwali kuwandiikiddwako bino:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuzingo gw’ekitabo ogwawandiikibwamu ekijjukizo ne guzuulibwa mu kibuga ekikulu Yakumesa eky’essaza ly’e Bumeedi nga kigamba nti: Ekiwandiiko:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basanga mu lubiri oluli mu kibuga e Yakumesa mu ssaza ery'Obumeedi omuzingo, ogwawandiikibwamu bwe gutyo okuba ekijjukizo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basanga mu kibuga eky'e Ekubatana mu kitundu ky'e Mediya omuzingo gw'ekiwandiiko kino:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balabira e Yakunesa mu lubiri oluli mu ssaza ery'Obumeedi omuzingo, ogwawandiikibwamu bwe gutyo okuba ekijjukizo nti