Ezra 6:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona n'Abaleevi beetukuza; bonna nga balongoofu. Abaleevi ne batta akaliga ka Pasika olw'abaali bavudde mu buwaŋŋanguse, ku lwa baganda baabwe bakabona ne ku lwabwe bennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona n’Abaleevi baali beetukuzizza era bonna nga balongoofu okukola emikolo. Abaleevi ne batta omwana gw’endiga ogw’Okuyitako, ku lwa baganda baabwe bakabona, nabo bennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bakabona n'Abaleevi baali beerongoosezza wamu; bonna baali balongoofu. Abaleevi ne batta omwana gw'endiga olw'Okuyitako ku lw'abaana bonna ab'obusibe ne baganda baabwe bakabona nabo bennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okuba bakabona n'Abaleevi beetukuliza wamu, bonna baali balongoofu. Bwe batyo Abaleevi ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ku lw'abo abaava mu buwaŋŋanguse, ne ku lwa baganda baabwe bakabona, ne ku lwabwe bennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baikabona n'Abaleevi baali beerongoosezza wamu; bonna baali balongoofu: ne battira Okuyitako abaana bonna ab'obusibe ne baganda baabwe bakaboa nabo bennyini.