Ezra 6:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli abaali bavudde mu buwaŋŋanguse ne bakalya, era wamu n'abo bonna abaali beewaze empisa embi ez'ab'amawanga abaali mu nsi n'abo ababeetoolodde, nga baagala okunoonya Omukama Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri abaava mu buwaŋŋanguse ne bagirya wamu n’abo bonna abaali beeyawudde, nga basinza Mukama Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri abaali bakomyewo okuva mu busibe n'abo bonna abaali beeyawudde gyebali okuva mu bugwagwa bwa bannamawanga ab'omu nsi okunoonya Mukama, Katonda wa Isiraeri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse, ne baliira wamu n'abo bonna abaaleka empisa enkyamu ez'ab'amawanga ababeera mu nsi eyo, balyoke basinze Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri abaali bakomyewo okuva mu busibe n'abo bonna abaali beeyawudde gye bali okuva mu bugwagwa bwa bannaggwanga ab'omu nsi okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri,