Ezra 6:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baakuza Embaga y'Emigaati Egitazimbulukuse okumala ennaku musanvu nga basanyufu, kubanga Omukama yali abasanyusizza bwe yakyusiza gye bali omutima gwa kabaka wa Assuri n'abayamba mu mulimu gw'Ekiggwa ky'Omukama Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamala ennaku musanvu nga balya n’essanyu Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, kubanga Mukama yabajjuza essanyu bwe yakyusa omutima gwa kabaka w’e Bwasuli, n’abayamba mu mulimu ogw’ennyumba ya Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne balya ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa n'essanyu okumala ennaku musanvu (7), kubanga Mukama yali abasanyusizza, era yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Bwasuli gyebali, n'abayamba ku mulimu gw'okuzimba ennyumba ya Katonda, Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bamala ennaku musanvu nga bakola n'essanyu Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Baali basanyufu, kubanga Mukama yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Assiriya, kabaka oyo n'abaagala, n'abayamba ku mulimu gw'okuzimba obuggya Essinzizo lya Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne balya ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa n'essanyu ennaku kkumi na musanvu: kubanga Mukama yali abasanyusizza, era yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Bwasuli gye bali, okunyweza emikono gyabwe mu mulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda, Katonda wa Isiraeri.