Ezra 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ Eky'okujjukira: “Mu mwaka ogusooka ogwa kabaka Kuuro, kabaka Kuuro yayisa ekirangiriro ku Kiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu nti: ‘Ekiggwa kizimbibwe, ng'ekifo eky'okuweererezangamu ebitambiro, n'emisingi gyakyo gizimbibwe. Kya kubeera kya mikono nkaaga obugulumivu, n'obugazi emikono nkaaga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti: Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27),
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka; olw'ennyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi, ennyumba ezimbibwe, ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, n'emisingi gyayo gissibwewo ginywezebwe; obugulumivu bwayo emikono nkaaga (60), n'obugazi bwayo emikono nkaaga (60),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu mwaka ogwasooka ogw'obufuzi bwa Kabaka Kuuro, kabaka Kuuro oyo yalagira nti Essinzizo eriri mu Abasiriya liddemu okuzimbibwa, okuba ekifo mwe baweerayo ebitambiro, era lizimbibwe ku musingi omugumu. Lijja kuba lya mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu, n'obugazi mita amakumi abiri mu musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka olw'ennyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi, ennyumba ezimbibwe, ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, n'emisingi gyayo gissibwewo ginywezebwe; obugulumivu bwayo emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono nkaaga;