Ezra 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kya mbu z'amayinja amanene ssatu n'olubu lumu olw'emiti; ssente ez'okukozesa zijja kusasulibwa nkuluze ya kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’erina embu ssatu ez’amayinja amanene, n’olubu olulala nga lwa mbaawo. Omuwendo gwonna gwakusasulibwa okuva mu gwanika lya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'embu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu olw'emiti emiggya; era eggwanika ly'obwakabaka lye linasasulira omulimu gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obugazi bw'ebisenge bube bwa mbu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu lw'embaawo empya. Eggwanika ly'obwakabaka lye linaasasulira omulimu ogwo gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'embu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu olw'emiti emiggya: era ebintu bye balifiirwa biggibwe mu nnyumba ya kabaka: