Ezra 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ebintu by'omu Kiggwa kya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadunezzari bye yali aggye mu Kiggwa e Yeruzaalemu n'abireeta mu Babiloni bizibbweyo, bigende mu kifo kyabyo mu Kiggwa mu Yeruzaalemu, biteekebwe mu Kiggwa kya Katonda.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era n’ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu Yeekaalu eri e Yerusaalemi, n'abireeta e Babbulooni, bizzibweyo bireetebwe nate mu Yeekaalu eri e Yerusaalemi, kinnakimu mu kifo kyakyo, era olibiteeka mu nnyumba ya Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ebintu by'omu Ssinzizo ebya zaabu ne ffeeza Nebukadunezzari bye yaggya e Abasiriya mu Ssinzizo n'abireeta e Babilooni, bizzibweyo mu Ssinzizo e Abasiriya, biteekebwe buli kimu mu kifo we kyali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nate ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, n'abireeta e Babulooni, bizzibweyo bireetebwe nate mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, kinnakimu mu kifo kyakyo, era olibiteeka mu nnyumba ya Katonda.