Ezra 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temweyingiza mu bya kuzimba Kiggwa kya Katonda ekyo. Muleke atwala Abayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe Ekiggwa kya Katonda ekyo mu kifo kyakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuyingirira mulimu ogukolebwa ku yeekaalu ya Katonda eyo. Muleke ow’essaza ly’Abayudaaya n’abakulu b’Abayudaaya bazzeewo ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
muleke omulimu ogw'omu nnyumba eno eya Katonda; muleke owessaza ow'omu Bayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe ennyumba eno eya Katonda mu kifo kyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleke omufuzi w'Abayudaaya n'abakulembeze baabwe be baba bazimba obuggya Essinzizo mu kifo kyalyo mwe lyali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
muleke omulimu ogw'omu nnyumba eno eya Katonda; owessaza ow'omu Bayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe ennyumba eno eya Katonda mu kifo kyayo.