Ezra 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era wano ndagidde bye muteekwa okukolera abakadde b'Abayudaaya abo nga bazimba Ekiggwa kya Katonda ekyo: Ssente abasajja abo ze banaakozesa zijja zonna kusasulibwa nkuluze ya kabaka, ku musolo oguweebwa mu kitundu ky'Emitala w'Omugga, omulimu guleme kuyimirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era nteeka etteeka erikwata ku bye muteekwa okukolera abakulu abo ab’Abayudaaya nga bazimba yeekaalu ya Katonda: Ebirikozesebwa abasajja abo byonna, bya kusasulibwa okuva mu ggwanika lya Kabaka, ku misolo egiva emitala w’omugga Fulaati, omulimu guleme okuyimirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate nteeka etteeka kye muba mukolera abakadde bano ab'Abayudaaya olw'okuzimba ennyumba ya Katonda eno; baggye ku bintu bya kabaka, ku musolo ogw'emitala w'omugga, abasajja abo basasulwenga mangu ate mu bujjuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mbalagira bye munaakolera abakulu b'Abayudaaya nga baddamu okuzimba Essinzizo: abasajja abo basasulwenga mangu era mu bujjuvu, ku musolo ogukuŋŋaanyizibwa okuva emitala w'omugga, omulimu guleme kuyimirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate nteeka etteeka kye muba mukola abakadde bano ab'Abayudaaya olw'okuzimba ennyumba ya Katonda eno: baggye ku bintu bya kabaka ku musolo ogw'emitala w'omugga bawe abasajja bano bye balifiirwa n'okunyiikira kwonna, baleme okuziyizibwa.