Ezra 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wabaddewo ekyetaagibwa, ng'ente ennume, endiga ennume n'obuliga obulume olw'okuweereza ebitambiro ebyokye Katonda w'eggulu, obanga bakabona abali mu Yeruzaalemu beetaaze eŋŋano, omunnyo, evviini n'omuzigo, bibaweebwe buli lunaku awatali kwekwasa kirala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baliba beetaaze okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w’eggulu, oba nte nnume ento, oba ndiga nnume, oba ndiga nnume ento, oba ŋŋaano, oba munnyo, oba nvinnyo, oba mafuta, muteekwa okuwa bakabona ab’omu Yerusaalemi byonna nga bwe baliba basabye buli lunaku obutayosa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebyo bye baneetaaganga, ente ento era n'endiga ennume n'abaana b'endiga okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w'eggulu, eŋŋaano, omunnyo, omwenge, n'amafuta, ng'ekigambo bwe kinaabanga ekya bakabona abali e Yerusaalemi, bibaweebwenga buli lunaku obutayosa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mubawenga bye beetaaga: ente ennume ento, endiga ennume n'abaana b'endiga, biweebwengayo eri Katonda w'eggulu nga bye biweebwayo ebyokebwa. Mubawenga n'eŋŋaano, n'omunnyo, n'omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti, nga bakabona abali e Abasiriya, bwe banaabanga babyetaaga. Mubibawenga buli lunaku, awatali kwosa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebyo bye baneetaaganga, ente ento era n'endiga ennume n'abaana b'endiga okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w'eggulu, eŋŋaano, omunnyo, omwenge, n'amafuta, ng'ekigambo bwe kinaabanga ekya bakabona abali e Yerusaalemi, baweebwenga buli lunaku obutayosa: