Ezra 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira yali yassaako omwoyo ku kuyiga Etteeka ly'Omukama, ku kulituukiriza, ne ku kuyigiriza amateeka n'ebiragiro mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya Mukama, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Ezera yali atadde omutima gwe kukuyiga okusoma amateeka ga Mukama n'okugakolanga n'okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n'emisango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezera n'anyiikira nnyo okusoma Amateeka ga Mukama, n'okugagoberera n'okugayigirizanga mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Ezera yali akakasizza omutima gwe okunoonya amateeka ga Mukama n'okugakolanga n'okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n'emisango.