Ezra 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Arutakesasuta kabaka wa bakabaka, eri Ezira kabona, omuwandiisi w'Etteeka lya Katonda w'eggulu. Nkulamusizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alutagizerugizi, kabaka wa bakabaka, Eri Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu: Nkulamusizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nze Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka nkuwandiikidde ggwe Ezera kabona, omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Arutazeruzeesi, kabaka wa bakabaka, nkuwandiikidde ggwe Ezera kabona, era omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka awandiikidde Ezera kabona, omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu eyatuukirira n'ebirala bwe bityo.