Ezra 7:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mpisizza ekirangiriro nti: mu bwakabaka bwange buli yenna ow'omu bantu ba Yisirayeli, nga mwe muli ne bakabona n'Abaleevi, ayagala okugenda naawe mu Yeruzaalemu, agende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nteeka etteeka nga buli muntu ow’omu ggwanga lya Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, awulira okugenda e Yerusaalemi naawe, ayinza okugenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nteeka etteeka nti bonna ab'oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe okugenda e Yerusaalemi bayinza, okugenda naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndagira nti mu bwakabaka bwange bwonna, Abayisirayeli bonna, ne bakabona, n'Abaleevi abaagala okugenda naawe e Abasiriya, bakkiriziddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nteeka etteeka bonna ab'oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe ddala okugenda e Yerusaalemi, bagende naawe.