Ezra 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otumiddwa kabaka n'ab'olukiiko lwe omusanvu ogende onoonyereze mu Yuda ne Yeruzaalemu Etteeka lya Katonda wo eryo ly'olina nga bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otumiddwa kabaka n’abakungu be omusanvu ab’oku ntikko okugenda okunoonyereza ku bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi nga mugoberera etteeka lya Katonda wammwe, lye mumanyi obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga otumiddwa kabaka n'abateesa naye omusanvu (7) okubuuza ebikwata ku Yuda ne Yerusaalemi, ng'amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze kabaka n'abawabuzi bange omusanvu, tukutuma ogende mu Abasiriya ne mu Buyudaaya, olabe oba nga amateeka ga Katonda wo agaakukwasibwa gagobererwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga otumiddwa kabaka n'abateesa naye omusanvu okubuuza ebigambo bya Yuda ne Yerusaalemi, ng'amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo;