Ezra 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'ab'olukiiko lwe gwe batonedde kyeyagalire Katonda wa Yisirayeli, alina ekisulo kye mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muba nga mugenda mutwale effeeza ne zaabu kabaka n’abakungu be bye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isirayiri, atuula mu Yerusaalemi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'okutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, mu kifo kye ky'abeeramu ekiri mu Yerusaalemi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ojja kutwala ffeeza ne zaabu, kabaka n'abakiise be bye bawaddeyo nga beeyagalidde, eri Katonda wa Yisirayeli, alina ekifo kye ky'abeeramu mu Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, ekifo kye ky'abeeramu kiri mu Yerusaalemi,