Ezra 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwo kw'onoogatta ffeeza yenna ne zaabu gw'onooba osobodde okufuna mu ssaza lyonna ery'e Babiloni, n'ebinaatonebwa kyeyagalire abantu ne bakabona olw'Ekiggwa kya Katonda waabwe mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
awamu n’effeeza ne zaabu yonna gye muliggya mu ssaza lya Babulooni, n’ebiweebwayo eby’obuwa abantu ne bakabona bye baliwaayo ku lwa yeekaalu ya Katonda waabwe mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne ffeeza yonna ne zaabu gy'olisanga mu ssaza lyonna ery'e Babbulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, kye bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ojja kutwala ffeeza ne zaabu gw'onookuŋŋaanya mu kitundu kyonna eky'e Babilooniya, otwale n'eby'Abayisirayeli bonna ne bakabona, bye beetemye okuwaayo nga beeyagalidde ku lw'Essinzizo lya Katonda waabwe e Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ffeeza yonna ne zaabu gy'olisanga mu ssaza lyonna ery'e Babulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, nga bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi;