Ezra 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weeyambise ssente ezo n'obwegendereza ogule ente ennume, endiga ennume, n'obuliga obulume, n'ebitone eby'obuwunga n'eby'okuyiwa, obiweerereze ku mwaliiro gw'Ekiggwa kya Katonda wammwe ekiri mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensimbi ezo mulizikozesa okugula ente ennume, n’endiga ennume, n’abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byako eby’obutta, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa era munaabiweerangayo ku kyoto eky’omu yeekaalu ya Katonda wammwe mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensimbi ezo, ojja kuzikozesa n'obwegendereza okugula ebintu bino: ente, endiga ennume, endiga ento, n'ebiweebwayo byako eby'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ensimbi ezo, ojja kuzikozesa n'obwegendereza, ozigulemu ente ennume, n'endiga ennume, n'abaana b'endiga, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, era n'ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako, obiweereyo ku alutaari mu Ssinzizo e Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyoliva onyiikira ennyo okugula ebintu bino ente, endiga ennume, abaana b'endiga, n'ebiweebwayo byako eby'obutta, n'ebiweebwayo byako ebyokunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi.