Ezra 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ne baganda bo muyinza okukozesa nga bwe mulaba ffeeza ne zaabu ebifisseewo, nga muluŋŋamizibwa Katonda wammwe ky'ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ne baganda bo Abayudaaya, kye mulisiima okukolamu effeeza ne zaabu erifikkawo kiriva gye muli ng’okusiima kwa Katonda wammwe bwe kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kyonna kyonna kye mulisiima okukozesa effeeza ne zaabu ekifikkawo, ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffeeza ne zaabu ebiriba bisigaddewo mubikozese kyonna Katonda wammwe ky'asiima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kyonna kyonna kye mulisiima okukola effeeza erifikkawo ne zaabu ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw'ayagala.