Ezra 7:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ebirala byonna by'olina okugula, ebineetaagibwanga mu Kiggwa kya Katonda, okyayinza okubisasuliranga ng'oggya mu nkuluze ya kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ekintu ekirala kyonna kye muliba mwetaaze okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe, kinaggyibwanga mu ggwanika lya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era byonna ennyumba ya Katonda wo by'eryetaaga okusukkirizaawo, ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng'obiggya mu nnyumba y'eggwanika lya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirala byonna ebisigadde nga byetaagibwa okuwaayo mu Ssinzizo, biggyibwe mu ggwanika lya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era byonna ennyumba ya Katonda wo by'eryetaaga okusukkirizaawo ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng'obiggya mu nnyumba y'eggwanika lya kabaka.