Ezra 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nze kabaka Arutakesasuta nnangiridde nti abawanika abali Emitala w'Omugga, buli kyonna Ezira kabona, omuwandiisi w'etteeka lya Katonda w'eggulu, ky'abasabanga, muteekwanga okukimuwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, nze kabaka Alutagizerugizi nteeka etteeka nga ndagira abawanika bonna abali mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati okuwanga Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu, by’anaabasabanga
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange nze kabaka Alutagizerugizi, nteeka etteeka eri abawanika bonna abali emitala w'omugga nti, Ezera kabona omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu buli ky'alibasalira, kikolebwenga n'obwegendereza bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Kabaka Arutazeruzeesi ndagira abawanika bonna ab'omu kitundu eky'emitala w'omugga nti ekintu kyonna Ezera kabona omuwandiisi w'Amateeka ga Katonda w'eggulu ky'anaasaba, bakimuwe awatali kulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange, nze Alutagizerugizi kabaka, nteeka etteeka eri abawanika bonna abali emitala w'omugga, Ezera kabona omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu buli ky'alibasalira, kikolebwenga n'okunyiikira kwonna,