Ezra 7:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutuusa ku talenta kikumi eza ffeeza, kori kikumi ez'eŋŋano, bati kikumi ez'evviini, bati kikumi ez'omuzigo; gwo omunnyo teguliiko kkomo lyawandiikibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okutuusa ku ttani ssatu n’ekitundu eza ffeeza, oba kilo enkumi bbiri mu bibiri ez’eŋŋaano, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’envinnyo, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’amafuta, oba n’omunnyo gwe baliba baagala gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bamuwe okutuusa talanta eza ffeeza kikumi (100), n'ebigero by'eŋŋaano kikumi (100), n'ebita by'omwenge kikumi (100), n'ebita by'amafuta kikumi (100). Era bamuwe n'omunnyo gwonna gwe yeetaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bamuwe obutasukka kilo enkumi ssatu mu bina eza ffeeza, ne kilo omutwalo gumu ez'eŋŋaano, ne lita enkumi bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu, ne lita enkumi bbiri ez'omuzigo ogw'emizayiti. Era bamuwe n'omunnyo gwonna gwe yeetaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa talanta eza ffeeza kikumi, n'ebigero by'eŋŋaano kikumi, n'ebita by'omwenge kikumi, n'ebita by'amafuta kikumi, n'omunnyo obutagwogera bwe guba gwenkana.