Ezra 7:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mumanye nti temulina buyinza kuweesa musolo mugereke oba gwa kikungo n'empooza bakabona, Abaleevi, abayimbi, abaggazi, abaweereza b'omu Kiggwa, n'abakozi abalala mu Kiggwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era mutegeere nga temusaana kuwooza musolo, oba empooza ey’engeri yonna ku kabona yenna newaakubadde Abaleevi newaakubadde abayimbi newaakubadde abakuumi ab’oku nzigi newaakubadde abaweereza ab’omu yeekaalu newaakubadde abaddu abalala ab’omu nnyumba ya Katonda eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tubategeeza nti temuggyanga misolo wadde empooza ku bakabona n'Abaleevi, abayimbi, abaggazi, abakuumi, oba abaddu abalala bonna ab'ennyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuggyanga misolo ku bakabona, n'Abaleevi, n'abayimbi, n'abaggazi, n'abakozi wadde abaweereza abalala bonna ab'omu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tubannyonnyola ebya bakabona n'Abaleevi, abayimbi, abaggazi, Abanesinimu, oba abaddu b'ennyumba eno eya Katonda, bonna bwe benkana, tekiiyinzikenga kubasalira musolo newakubadde ebisalirwa newakubadde empooza.