Ezra 7:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna atatuukiriza Tteeka lya Katonda wo na tteeka lya kabaka ateekwa okusalirwa ekibonerezo kya kufa, oba kya kugobebwa, oba kya kubowebwako bibye, oba kya kusibirwa mu kkomera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, n’etteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo, n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n'okunyikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu anaajeemeranga amateeka ga Katonda wo, oba aga kabaka, aweebwenga ekibonerezo eky'amaanyi, oba kya kuttibwa, oba kya kuwaŋŋangusibwa, oba kya kunyagibwako bibye, oba eky'okusibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n'okunyiikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa.