Ezra 7:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era eyandeetedde okugirirwa ekisa kabaka, ab'olukiiko be n'abakungu be ab'obuyinza. Kubanga omukono gwa Katonda wange gwandiko, naguma ne nkuŋŋaanya abakulembeze mu Yisirayeli bagende nange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’abawi b’amagezi be ab’oku ntikko, n’abakungu ba kabaka bonna, n’olw’omukono gwa Mukama Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka n'abamuwa amagezi, era n'abakungu be ab'amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw'omukono gwa Mukama Katonda wange, ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okugenda nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ansaasidde ne njagalibwa kabaka n'abamuwa amagezi, era n'abakungu be ab'amaanyi. Mukama, Katonda wange, ampadde amaanyi ne nsobola okusikiriza abakulembeze mu Yisirayeli okugenda nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka, n'abateesa naye ne mu maaso g'abakulu bonna aba kabaka ab'amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw'omukono gwa Mukama Katonda wange ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okwambuka nange.