Ezra 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira oyo, yayambuka okuva e Babiloni. Yali muwandiisi, omukugu mu Tteeka lya Musa Omukama Katonda wa Yisirayeli lye yawa. Kabaka yamuwa buli kyonna kye yasaba, kubanga omukono gw'Omukama Katonda we gwamuliko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ava e Babulooni. Yali munnyonnyozi w’amateeka mukugu mu mateeka, Mukama Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka n’amuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa Mukama Katonda we gwali wamu naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezera oyo n'ava e Babbulooni n'agenda e Yerusaalemi; era yali muwandiisi nga amanyi nnyo eby'omu mateeka, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa Musa. Kabaka nawa Ezera byonna bye yasaba, kubanga Mukama Katonda yali wamu naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezera oyo n'ava e Babilooniya n'agenda e Abasiriya. Yali amanyi nnyo eby'omu Mateeka, Mukama Katonda wa Yisirayeli, ge yawa Musa. Kabaka n'awa Ezera byonna bye yamusaba, kubanga Katonda yali wamu ne Ezera oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezera oyo n'ayambuka ng'ava e Babulooni; era yali muwandiisi mwangu mu mateeka ga Musa, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa; kabaka n'amuwa byonna bye yasaba, olw'omukono gwa Mukama Katonda we ogwali ku ye.