Ezra 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yasitula okuva e Babiloni ku lunaku olusooka olw'omwezi omubereberye, n'atuuka mu Yeruzaalemu ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwokutaano, kubanga omukono omulungi ogwa Katonda we gwamuliko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yava e Babbulooni ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwolubereberye Katonda n'amuyamba n'atuuka e Yerusaalemi, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'okutaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yava e Babilooniya, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogusooka, Katonda n'amuyamba n'atuuka e Abasiriya nga lubereberye omwezi ogwokutaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye kwe yasookera okwambuka okuva e Babulooni, ne ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okutaano kwe yatuukira e Yerusaalemi, olw'omukono omulungi ogwa Katonda we ogwali ku ye.