Ezra 8:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabakuŋŋaanyiza ku mukutu oguyiwa ku Awava, ne tusiisira awo ennaku ssatu. Natunula mu bantu ne mu bakabona naye saasangamu bazzukulu ba Leevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava; ne tusiisira eyo ne tumalayo ennaku ssatu. Ne nneetegereza abantu ne bakabona, ne ssirabayo n'omu ku batabani ba Leevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogulaga e Ahava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Bwe natunula mu kibinja ky'abantu ne bakabona, ne nsanga nga temuli Muleevi n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava; ne tusiisira ne tumalayo ennaku ssatu: ne nneetegereza abantu ne bakabona, ne ssirabayo n'omu ku batabani ba Leevi.