Ezra 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kutumya Eliyezeri, Ariyeli, Semaaya, Elunatani, Yaribu, Elunatani, Natani, Zakariya, Mesullamu abaali abakulembeze, ne Yowaribu ne Elunatani abasajja abakalabakalaba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, ne Erunasani, ne Yalibu, Erunasani, Nasani, Zekkaliya, ne Mesullamu, abasajja abakulu, era ne Yoyalibu ne Erunasani, abasajja abamanyi ensonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo ne ntumya Eleyazaari, ne Alyeri, ne Semaaya, ne Elunatani, ne Yaribu, ne Elunatani, ne Natani, ne Zekariya ne Mesullamu, abasajja abakulu, era ne Yoyaribu ne Elunatani abasajja abamanyi ensonga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, ne Erunasani, ne Yalibu, ne Erunasani, ne Nasani, ne Zekkaliya, ne Mesullamu, abasajja abakulu: era ne Yoyalibu ne Erunasani, abayigiriza.