Ezra 8:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omukono gwa Katonda waffe gwatuliko, ne batuleetera omusajja omugezi ennyo, omu ku bazzukulu ba Makuli mutabani wa Leevi, mutabani wa Yisirayeli; ye Serebiya, wamu ne bazzukulu be ne baganda be, abasajja kkumi na munaana;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’omukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olw'omukono omulungi ogwa Katonda waffe ogwali ku ffe ne batuleetera omusajja ow'amagezi, ow'oku batabani Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri; ne Serebiya ne batabani be ne baganda be, kkumi na munaana (18)
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'obuyinza bwa Katonda, ne batuweereza Serebiya, omusajja Omuyisirayeli ow'amagezi ow'omu Kika kya Leevi era ow'omu nnyumba ya Mahuli. N'ajja ne batabani be ne baganda be, bonna awamu kkumi na munaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olw'omukono omulungi ogwa Katonda waffe ogwali ku ffe ne batuleetera omusajja ow'amagezi, ow'oku batabani ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri; ne Serebiya ne batabani be ne baganda be, kkumi na munaana;