Ezra 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baleeterako n'abaweereza b'omu Kiggwa, abo Dawudi n'abakungu be be baali batonzeewo okuyamba ku Baleevi; baali ebikumi bibiri mu abiri. Bonna ne bawandiikibwa amannya gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era ne baleeta n’abaweereza ba yeekaalu Dawudi n’abakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwo kweyongerako abaweereza ab'omu Yeekaalu bibiri mu abiri (220). Kabaka Dawudi n'abakungu be baawaayo okuyamba Abaleevi. Abo bonna ne baatulwa amannya gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwo kweyongerako abaweereza ab'omu Ssinzizo ebikumi bibiri mu abiri, Kabaka Dawudi n'abakungu be, be baawaayo okuyamba Abaleevi. Abo bonna baawandiikibwa amannya gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku Banesinimu, Dawudi n'abakulu be baawaayo olw'okuweereza Abaleevi, Abanesinimu ebikumi bibiri mu abiri: bonna ne baatulwa amannya gaabwe.