Ezra 8:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zo ensonyi zankwata ne sisaba kabaka bakuumi na beebagazi ku mbalaasi ab'okututaasa abalabe mu kkubo, kubanga twali tugambye kabaka nti: “Omukono gwa Katonda waffe omulungi guli ku bonna abamunoonya abakuume, naye obuyinza n'obusungu bwe bijjira abo bonna abamuvaako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ensonyi zankwata okusaba kabaka ekitongole ky'abaserikale n'abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe mu kkubo; kubanga twali twogedde ne kabaka nti, “Omukono gwa Katonda waffe guba ku abo bonna abamunoonya olw'obulungi; naye obuyinza bwe n'obusungu bwe buli eri abo bonna abamuleka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka ampe ekibinja ky'abaserikale, n'abeebagala embalaasi batukuume mu balabe baffe nga tugenda. Nali ŋŋambye kabaka nti Katonda waffe awa omukisa buli muntu amwesiga, wabula anyiigira era n'abonereza buli amulekulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ensonyi zankwata okusaba kabaka ekitongole ky'abaserikale n'abeebagala embalaasi okutuyamba eri abalabe mu kkubo: kubanga twali twogedde ne kabaka nti Omukono gwa Katonda waffe guba ku abo bonna abamunoonya olw'obulungi; naye obuyinza bwe n'obusungu bwe buli eri abo bonna abamuleka.