Ezra 8:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mbapimira ffeeza, zaabu n'ebintu kabaka, ab'olukiiko lwe, abakungu be, n'Abayisirayeli bonna abaaliwo, bye baali batonedde Ekiggwa kya Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ne mbapimira effeeza n'ezaabu, n'ebintu, kye kiweebwayo olw'ennyumba ya Katonda waffe, kabaka n'abateesa naye n'abakungu be era ne Isiraeri yenna abaali eyo bye baawaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ne mbapimira ffeeza ne zaabu, n'ebintu kabaka n'abawabuzi be, n'abakungu be era n'Abayisirayeli bye baawaayo bikozesebwe mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mbagerera effeeza n'ezzaabu n'ebintu, kye kiweebwayo olw'ennyumba ya Katonda waffe, kabaka n'abateesa naye n'abakungu be ne Isiraeri yenna abaali eyo bye baawaayo: